America yeyamye okwongera okukwasizaako Uganda mukulwanyisa endwadde, wamu n’okulikwasaganya n’ebitongole ebiyinza okubawa obuvujjirizi era ebirina obukugu mu ndwadde ezenjawulo.
Obweyamo buno bukoleddwa avunaanyizibwa kuntambuza ye mirimu ku kitebe kya America mu Uganda, Mikael Cleverly bwabadde alambula emirimu ejikolebwa ekitongole ekivunanyizibwa ku kunoonyereza ku ndwadde mu ggwanga ki Joint Clinical Research Center JCJC mu maka gakyo e Lubowa, okwekenneenya engeri gyebayinza okwongera okukiyambako.
Ssenkulu w’ekitongole ki Joint Clinical Research Center Dr Cissy Kityo Mutuuluuza, anyonyodde Mikael Cleverly enteekateeka zebalina gyebujja nga zetaaga abavujjirizi, nga zikwata ku by’okunoonyereza ku ndwadde ez’enjawulo engeri gyezijjanjabwamu.
Mu ngeri yeemu
Cissy Kityo Mutuuluuza ategezezza nti ekitongole kyagala okwongera okugaziya enteekateea y’okukebera obutafaali bw’a Nalubiri oba sicklecell mu bantu, wamu n’okubangula abantu mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo ku ndwadde eno.
JCRC ewezezza emyaka 30 bukyanga etandikibwawo okunoonyereza ku by’obujjanjabi obw’enjawulo mu Uganda.
Bisakiddwa: Nakato Lwantale Jennifer












