Abantu bataano nga basatu ku bano bakyala abasuliridde okuzaala bawonye okufiira mu kabenje, ambulance ebadde ebaddusa mu ddwaliro e Kabale bweremeredde omugoba waayo, ne yerinddigula ekigwo.
Akabenje Kano kagudde ku kyalo Ntaraga mu gombolola ye Ikumba kubluguudo oluva Kagunga okudda e Kabale.
Mmotoka ya ambulance namba UAL 194JT Land Cruiser nga ya ddwaliro lya Kiizi Health Centre III yeremeredde omugoba waayo, bwebadde eddusa abakyala abagenda okuzaala mu ddwaliro lya Kabale referral Hosiptal.
Abawonye okufa mubaddemu Busingye Brandina myaka 25yrs nga muzaalisa, Byomugabe Wilson 45yrs abadde omugoba wa ambulance ,Nyinaguhigwa Brandina , Nuwamanya ,Ntegyerezi Veneranda myaka 52, mutuuze ku kyalo Kashasha mugombola ye kashasha mu district ye Rubanda.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyo Elly Maate asabye abagoba ba ambulance okubeera abegendereza nga bavuga abalwadde, nti kubanga abamu basusse emisinde kwebalina okuddukira.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru