Amayitire gabamu ku bantu abakwaatibwa ne babuzibwaawo gazeemu amatankane Eggye ly’eggwanga ligambye nti teririnaako munna Yuganda yenna gweririna mu budduukulu bwa maggye kwabo abaze bakwatibwa, mu bikwekweeto ebikolebwa ebitongole ebikuuma ddembe okuzuula abeenyiggira mu kwekalakaasa okwaliwo mu ggwanga nga 18 ne 19 omwezi ogwa November.
Okuva okwekalakaasa kuno lwakwaaliwo, abantu abawerako bazze bakwaatibwa okuva mu bitundu gy’ebakolera, abalala bagibwa ku nguudo, abalala bagibwa mu mayumba gy’ebasula ne batwaalibwa abakuuma ddembe ngabamu babeera mu Uniform za Police abalala babeera mu uniform zamaggye songa waliwo nabalala ababeera mu ngoye ezabulijjo.
Bannanyini bantu bano, abamu babanoonya nebabula songa abalala bamala kulajaana olwo nebabekangira mu mawulire nti baatwaliddwa mu kkooti nebasindiikibwa mu makomera.
Omwogezi wamaggye Brigadier Gen Flavia Byekwaso asinzidde ku media Center mu Kampala naagamba nti akimanyiiko nti waliwo okukwaata abantu okugenda mu maaso, wabula amaggye tegalina muntu yenna gwegalina mu bifo byaago byonna okuli nekya CMI, Police yerina okunyonyola abantu banno gyebali.
Brigadier Gen Flavia era asinzidde ku media Center naayisa okulabula eri abantu bagambye nti bateekateeka okutabangula eggwanga mu biseera by’ennaku enkulu nekiseera ky’Okulonda nti amagye gabetegekedde, tegalina gwegagenda kuttira ku liiso.
Eri abo abateekateeka okwekalakaasa, Abagambye nti okwekalakaasa kwawerebwa mu ggwanga era tekukkirizibwa mu mateeka geggwanga , yadde tanyonyodde tteeka ki.