Amataba gazeemu okukosa district ye Bulambuli ne Butalejja, amasomero agamu gagaddwa, amayumba g’abatuuze n’emmere byonooneddwa, saako enguudo ezisaliddwako amataba.
Ssentebe wa district ye Butaleja Michael Higenyi agambye nti basazeewo okugira nga baggalawo amasomero, olw’abayizi okuba nga tebakyalina webayita, olw’amataba agasazeemu enguudo.
Mu district ye Bulambuli ekyalo Bubulo ekisangibwa mu muluka gwe Bumwangu mu ggombolola ye Bumufuni kyekisinze okukosebwa.
Amataba gano gavudde ku kubimba kw’omugga Manafwa.
Omwogezi wa Redcross Irene Nakasiita agambye nti omuntu omu yeyakazuulwa ng’afiiridde mu mataba ge Butaleja, so nga waliwo n’abaana 6 abakoseddwa mu district ye Bulambuli era baddusiddwa mu ddwaliro lye Bunambutye resettlement health centre III.
District ye Bulambuli, Butalejja, Buduuda n’endala eziziriraanye zizze zikosebwa amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka buli nkuba lwetonnya emigga n’egyibooga.#