Amasasi n’omukka ogubalagala binyoose mu district ye Kyegegwa ,Police n’amagye bwebibadde bigumbulula abawagizi b’omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, ababadde bamuwerekera bwabadde agenda walina okukuba olukungaana.
Police mu kitundu kino ezibye enguudo zonna ezigenda awategekeddwa olukungaana, n’okugoba abantu bonna ababadde bagenda kulukungaana luno ekidiridde kukuba mukka gubalagala n’amasasi mu bantu.
Newankubadde Police ebadde etangira abantu okukungaanina mu kifo ewategekeddwa olukungaana luno, abantu basigadde badduka ku bigere okutuusa lwebatuuse mu kifo kino.
Wabula aba NUP kibabuuseko bwetuuse mu kisaawe nga mizindaalo kwebabadde balina okwogererako nga abakuuma ddembe babiwambyedda.
Wakati nga amasasi gavuga n’omukka ogubalagala kyagulanyi Ssentamu awanyisiganyiza ebisongovu n’abakuuma ddembe nga abagamba nti akooye okumuyisa nga omutujju n’okumukolako ebikolwa ebye fujjo, era ono abategeezezza nti byebakola bimenya mateeka.
Kyagulanyi oluvudde wano egenze Kyanjojo, gyakubye olukungaana olw’okubiri olunaku olwaleero.