Omulimu gw’okuzimba amalwaliro g’Obwakabaka bwa Buganda mu masaza gwongedde okuwa essuubi, ery’e Ssingo lituuse ku mutendera gw’okusereka.
E Ssingo eddwaliro lizimbibwa ku ggombolola y’e Busimbi lyakuyitibwa Muteesa II Health Centre IV.

Eddwaliro eddala lizimbibwa mu ssaza Buddu, lizimbibwa Mukungwe, batandise okusitula omusingi.
Eriddako ligenda kuzimbibwa Njeru mu Kyaggwe.

Minister wa government ez’ebitundu Owek. Joseph Kawuki n’omuteesiteesi omukulu mu Buganda Omuk Josephine Nantege balambudde omulimu ogwakakolebwawo.