Akwatidde FDC bendera kukifo kyo mukulembeze we ggwanga PATRICK AMURIAT OBOI asekeredde abalowooza nti talina buwagizi bumusobozesa kuwangula kifo kino, nasaba abalina endowooza eno okutandika okulowooza kubintu ebinene ng’eri gyebasobola okukyusaamu obukulembeze bwe ggwanga.
PATRICK AMURIAT eyakazaako elya The Villager oba munnakyaalo asinzidde Soroti Ku Eneku Village ng’ayogerako eri bannamawulire nagamba nti ekibiina kyakiririzaamu FDC kirina obusobozi obukulembera eggwanga lino, era nategeeza nti yasazeewo kutandikira waka asooke afune emikisa olwo ayolekere ebitundu ebirala.
AMURIAT yebazizza obuwagizi abantu be Teso bwebamulaze, nagamba nti ng’atandikira kubuwagizi obuli ewaka nekibiina kya FDC ajja kusobola okuwangula Akalulu Kano, wabula nalabula akakiiko kebyokulonda obutasaagira mukalulu Ka bannayuganda.
Munnakyaalo Patrick AMURIAT awakanyiza ebibadde byogerwa nti Besigye tali naye mukunoonya akalulu nagamba nti bali bona nti era kyaliko kisukka nekyebalowooza, era nakakasa nti eggwanga lilina okukyusa obukulembeze.
Ono avumirira nnyo abakuuma ddembe olwengeri gyebakuttemu abawagizi be nti bino byona byakukyuuka singa atuuka mubukulembeze.
Patrick oluvanyuma lwokwogera ne bannamawulire, azzemu okunoonya akalulu mu bitundu ebyénjawulo era Wetukoledde eggulire lino nga ayolekera district ye Serere okwongera okufafetta obuwagizi.