Akitebe kya Uganda mu Democratic Republic of Congo kye kimu ku birumbiddwa abekalakaasi mu kibuga Kinshasa, ekitundu ky’ekitebe bakiteekedde omuliro.
Ebitebe ebirala ebiruumbiddwa kuliko South Africa, Kenya, France ne Rwanda.
Ekya USA kibalemeredde, amagye agakikuuma bagasaanze gagaludde nebageetegula.
Abekalakaasi bawakanya obulumbaganyi bw’abayeekera ba M23,abeerangiridde nti bezizza ekibuga Goma, ng’abantu balumiriza amawanga ag’omuliraano okuwagira abayeekera.
Mu ngeri yeemu balumiriza amawanga g’abazungu okuli Bufaransa ne America, olw’okuwagira obutabanguko mu DRC, n’ekigendererwa eky’okunyagulula eby’obugagga byayo.
Amyuka sipiika wa parliament ya Uganda Thomas Tayebwa abadde mu lutuula lwa parliament n’alagira minister omubeezi ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga John Murimba okugenda mu parliament annyonyole ku nsonga z’olutalo lwe Congo n’ekitebe kya Uganda ekyokeddwa.
Mu ngeri yeemu omwogezi wa UPDF Brig. Felix Kulaigye agambye nti olw’okuba Goma ewambiddwa abayeekera eri kumpi ne Uganda naddala district ye Kisolo, tebayinza kwesuulirayo gwa nnaggamba kumbeera egenda mu maaso mu DRC eyinza okuyingira mu Uganda.