Akakiiko kafulumiza ebiragiro ebikakiri eri abagenda okusunsulwamu olwa leero nga kino kigendereddwamu okutangira ensasaanya ye kirwadde kya COVID 19.
Okusunsulamu kugenda kukolebwa ku bitebe bya kakiiko ke byokulonda ku zidistricts era Ssentebe wa Kakiiko ke byokulondda, Omulamuzi Simon Byabakama agambye nti okusunsulwamu olwa leero ne nkya okwa babaka ba Palamenti kulina okugoberera ebiragiro bye bitongole ebikuuma ddembe.
Ku bifo ebyenjawulo, okunsusulamu kutandise enkya ya leero.
Abasasi baffe balondodde enteekateeka eno mu bitundu ebye njawulo.