Kampuni y’essimu eya Airtel ne K2 batongozza amayengo ga internet aga 5G, okwongera okutereeza ebyempuliziganya, ng’emu ku nteekateeka y’ebijjukizo by’amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’omulundi ogwa 30.
Omukolo gw’okutongoza Airtel 5G gubadde mu Bulange e Mengo.
Omumyuka owokubiri owa Katikkiro wa Buganda owek Rotarian Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abavubuka okweyambisa emitimbagano okutereeza ebyenfuna byabwe ng’abantu n’ebitundu byabwe.

Irene Kaggwa Ssewankambo akulira ekitongole ekirondoola ebyempuliziganya ki UCC, yebazizza obwakabaka olwokusoosowaza technology era n’abusaba okwongera okukubiriza abalimi okwettanira technology.
David Birungi nga ye mukwanaganya w’e mirimu gya Airtel mubantu ba bulijjo ategeezezza nti kino bakikoze oga ebimu ku bikujjuko ebikulembeddemu amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 30.
Yebazizza Obwakabaka olw’enkolagana gyebulina ne Airtel evuddemu ebibala bingi ddala ebirabwako era ebiganyudde abantu ba bulijjo.
Bisakiddwa: Kibuuka Fred