Ab’eddira ekika ky’Omutima Omuyanja e Bbaale Buddu nga bakulembeddwamu Jajja Omutaka ow’akasolya Nnamugera Kakeeto owa 47 Nicholas Kaseekende bayozaayozezza omuzzukulu/ muganda wabwe Katikkiro Charles Peter Mayiga olw’okuweza emyaka 10 ng’akutte Ddamula.
Ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mengo.
Omutaka Nnamugera yeeyanzizza Ssaabasajja Kabaka okulengera muzzukulu we, Mayiga n’amuwa Ddamula amukulemberereko Obuganda.
Jjajja Kaseekende yeebazizza Muzzukuluwe olw’okuweereza Ssaabasajja n’obumalirivu, okukakasa ng’emirimu gy’embuga gitambula bukwakku era bingi ebikoleddwa ebirabwako.
Amwebazizza olw’okukola ennyo okunyweza Nnamulondo n’okukomyawo ekitiibwa kya Buganda n’okukikuumira mu bantu ba Kabaka.
“Ozzizzaawo nnyo ekitiibwa kya Kabaka, Abaganda bongedde okwagala Kabaka wabwe, era ekyo nkikwebaliza nnyo, onywezezza Nnamulondo ate era nga ogwo gwegumu ku miramwa gyewajjirako Okunyweza Nnamulondo, era tukwebaza nnyo okukolagana n’Olulyo Olulamngira” – Nnamugera Kakeeto
Amwebazizza nnyo olw’okuwagira emirimu gy’ekika kye n’okukyenyumirizaamu yonna gyayita ng’akisoosowaza.
Amwebazizza nnyo okwagazisa abantu okukola n’okwekulaakulanya naddala mu by’obulimi nga Emmwanyi Terimba.
Amutenderezza olw’okubeera omugatta w’amasiga gonna agakola Obwakabaka bwa Buganda okuli Effuzi, Olulyo Olulangira n’Abataka.
Bwabadde ayogerako gyebali, Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza nnyo Omutaka Nnamugera, bagandabe ne bannyina abazze okumukyalirako n’okumuyozaayoza.
“Abantu bangi banjozaayozezza, naye abalala bulijjo bagamba, ahaa, katulabe Ab’omutima, naye mwebale kujja…”.
Yeeyanzizza nnyo Ssaabasajja okusiima n’amulonda era n’amwesiga n’amuwa Ddamula nga Katikkiro ow’okubiri ey’eddira Omutima ku mulembe guno Omutebi, ng’eyasooka yeyali Katikkiro Joash Mayanja Nkangi eyakuuma Ddamula okumala emyaka 30 be ddu, okuva mu 1964 okutuuka 1994.
Asabye Abaganda mu bika eby’enjawulo bulijjo okwettanira okukolera awamu okukuza n’okukulaakunya ebika byabwe nga bakolera wamu mu bwegassi.
“Enkulaakulana mu bika siyabataka bokka, naye yaffe ffenna ng’abazzukulu”
Abasabye okunyweza enkola y’Ebika ng’omusingi gw’obumu awatali njawukana mu nzikiriza z’eddiini yadde eby’obufuzi.
Abawadde amagezi okwagazisa abaana ebika byabwe n’ebibikwatako ate n’okwewala enkola y’okutuuma erinnya erimu ku buli mwana kyagambye nti kikonzibya enkola y’okutuuma amannya n’okugazaaya.
“Enkola eyo enafuya nnyo ebika byaffe, ssinga buli mwana azaalibwa atuumibwa Sseremba, mu myaka 200 oyinza okwesanga ng’osigazza amannya ana (4) gokka…”
Mu mbeera yeemu abasabye okutambulira ku mulembe nnaddala nga bettanira tekinologiya ow’omulembe, kubanga ensangi zino abavubuka bangi ebitundu 70 ku kikumi bali wansi wa myaka 30 abatakyasoma mawulire yadde okulaba TV nga byonna babisanga ku ssimu.
“Kyova olaba nga kati Bayibuli ne Quran byonna biri ku ssimu, era nga bwemmanyi Jjajja ono, Bayibuli ye ali ku ssimu, omuntu takyakaalakaala na Bayibuli mu ngalo…”
Abategeezezza nti enkola ya Tekinologiya yeeyokka kati ekozesebwa okukuuma ebintu byonna ebyenkizo.
Abasabye okwongera okumusabira naye nti ate tebasaanye kweraliikirira nti aliko ebimusoomooza mu buweereza.
“Jjajja agambye nti waliwo ebinsoomooza, nzenno ebyo sibifaako nnyo kubanga buli lwokola ekintu newabaawo akwogerera ng’omanya nti obaze ebibala, balina kunkuba nkonyogo, haaa, nga nneeraliikirira omuntu atudde wali atalina yadde omudaala gw’amenvu…”
Ab’ekika ky’Omutima bamutonedde n’ekifaananyi kye ekisiige, kibeere ekijjukizo kw’anajjuukiriranga obugenyi bwabwe obwokumuyozaayoza olw’emyaka 10 ng’akuuma Ddamula.
Bano babadde bumu e Katikkiro w’ekika kino Luberenga Yowana Maria Bajjabayira, abamu ku b’amasiga, emituba n’ennyiriri ez’enjawulo mu kika.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K