Police mu Kampala n’emiriraano ekutte era n’eggalira abavubuka 2 abasangiddwa n’ebijambiya, oluvannyuma lw’okunyakulako abakyala 2 ensawo zabwe ku luguudo lwa Lumumba Avenue mu Kampala wakati.
Abebijambiya bano okukwatibwa balina omukyala gwebabadde bakanyagululako ensawo ye naakuba enduulu esoombodde abagoba ba Bodaboda abawerako, nebagoba abavubuka bano ababadde batambulira ku pikipiki nebabakwatira mu nkulungo ye Nakasero.
Bagenze okubaaza nebabasaanga nebijambiya, nebalyoka ababakuba ensambaggere, police okuva ku CPS yezze nebataasa.
Abagoba ba Bodaboda ababakutte bagamba nti bakooye abantu okukozesa pikipiki nebanyagulula abantu nebavumaganya omulimu gwabwe.
Ensangi zino ebikolwa eby’obutemu bwe jambiya bweyongede mu Kampala n’emiriraano kyokka nga abatambula nazo babeera ku pikipiki naddala obudde obwekiro, abantu webanyukira okuva ku mirimu gyabwe.
Abakwatiddwa baggaliddwa ku CPS mu Kampala ng’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif