Abayizi emitwalo 515,160 bebawereddwa ebifo okwegatta ku masomero ga secondary okusoma senior esooka, mu lusoma olusuuburwa okutandika nga 19 February,2024.
Abayizi bano beebamu ku bayizi emitwalo 64 8,662 abaayita ebibuuzo bya P7 ebya Primary Leaving Exams, (PLE), omwaka oguwedde 2023 era amasomero 4,053 gegatutte abayizi bano.
Abayizi emitwalo 13 3,502 bbo bakugenda mu matendekero ag’emikono.
Amatendekero agatwala ebyemikono aganatwala abayizi ku mutendera guno gali 41, era abayizi basabiddwa okutwalayo amabaluwa agasaba ebifo, obutasukka 09 February.
Bwabadde aggulawo okusunsulamu kw’abayizi okuyindidde e Lugogo ku multipurpose hall, minister w’ebyenjigiriza n’emizannyo era mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Janet Kataaha Museveni, mu bubaka bwatisse minister omubeezi ow’eby’enjgiriza avunanyizibwa ku byemizanyo, Peter Ogwang, asabye abakulira amasomero okuteekawo embeera eyagazisa abaana okusoma.
Bisakiddwa: Ddungu Davis