Akakiiko k’ebyokulonda mu Uganda kateekateeka z’okuzza obuggya enkalala z’abalonzi omwezi guno ogwa January,2025, abayisiraamu mu ggwanga baweereddwa amagezi okuzenyigiramu mu bwangu era bateeketeeke okwesimbawo ku bifo ebitali bimu ng’ekiseera kituuuse .
Bino byogeddwa eyaliko president general w’ekibiina kya JEEMA Muhammed Kibirige Mayanja.
Okwongera bino asinziridde ku mukolo gw’okutuuza abakulembeze b’ettwale lya Wakiso Central mu office ya Super Supreme Mufti ku masgid Sowedi e Kona mu wakiso town council .
Ssentebe wa district ye wakiso Dr Matia Lwanga Bwanika avumiridde ekya government okumala gakwata bannabyabufuzi awatali kulumirirwa banganda zabwe, era nasaba abakulu mu government okwekuba mu kifuba babayimbule naddala mu kiseera kino ng’omwaka gwakatandika .
Sheik Hatwibu Lutabi Pokino nga yakubye ebirayiro okukulembera etwale lya Wakiso Central ategeezeza nga bwagenda okufuba okugatta abasiraamu mukitundu kino wamu n’okukola obutaweera okukolaganira awamu nabenzikiriza endala mu ggwanga .
Bisakiddwa: Tonny Ngabo