Police erabudde abayimbi okuli Alien Skin ne Pallaso okwekomako ku ffujjo, lyebasitudde, nti lyandiviirako abantu okufuna obuvune obwolubeerera, nabo bennyini okukwatibwa nebaggalirwa.
Abayimbi abogerwaako babadde begumbulidde enkola yÓkutambula nÉbibinja byÁbavubuka ba Kanyama abatasaaga, nga bano bamanyiddwa nga Eggaali.
Okulabula kwa police kujjidde mu kiseera nga ababiri bano ebibinja byabwe birwanagana misana na kiro.
Kigambibwa nti Ekibinja kyÓmuyimbi Pallaso kirumbye amaka ga Alien Skin agasangibwa e Makindye era kirese buli kintu omuli Emmotoka nÉnnyumba nga ziyiiriddwa Endabirwamu.
Era kigambibwa nti effujjo lino ery’okwonoona ebintu lyatandikira ku kivvulu ekimu ku lusooka omwaka, ebibinja byÁbayimbi bombiriri byalabiddwako mu kulwanagana kafungulankete okwabadde mu kivulu ekimu ku bitundu bye Buloba.
Ku kivvulu kino Pallaso yalabiddwaako ng’akubwa , era yaddukidde mu Mmotokaye eyabadde ekanyugirwa Amayinja nÓbutebe okuva mu kibinja ekirala.
Omwogezi wa police mu ggwanga Kituuma Rusoke ategeezezza nti ababiri bano bagenda kukwatibwa baggalirwe ssinga tebakomya kulwanagana, era bakubeera ekyokulabirako eri Abayimbi abalala abegongedde okukola effujjo n’okutabangula emirembe gy’abalala.#