Abasaakaate abasoba mu 600 boolekedde essomero lya Janaan School e Bombo, ewakubiddwa embuga y’Ekisaakaate omwaka guno 2025.
Ekisaakaate kyakumala wiiki bbiri, okuva leero nga 04 okutuuka nga 18 January,2025.
Abasaakaate basiimbuddwa Ssaabagunjuzi w’Ekisaakaate Owek.Rashid Lukwago, ku mbuga enkulu mu Bulange e Mengo.
Omulamwa gw’ekisaakaate 2025 gugamba nti “Okukwanaganya Obuwangwa ne Tekinologiya”