Abawagizi ba ttiimu y’omupiira eya Sports Club Villa bakiise embuga nebasisinkana Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu Bulange e Mengo, era nga naye muwagizi wa Villa.
Abawagizi ba tiimu ya Villa Jjogo Ssalongo bakulembeddwamu Hajji Meyiwa Farook, eyegwanyiza ekifo kyÓbukulembeze ekyokuntikko mu Tiimu ya Villa Jjogo.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga bwabadde ayogerako gyebali asabye banna byamizannyo nÁbawagizi okwetoloola eggwanga lyonna okwewala okusiwuuka empisa , kuba zitta emikisa gyÉnkulaakula.
Agambye nti ekimu ku bittattanye emizannyo omuli Omupiira mu Africa, kusiwuuka mpisa mu bawagizi nÁbazannyi.
Katikkiro annyonyodde nti ttiimu ya Villa gyeyatandika okuwagira mu 1982 yamanyika nnyo olw’okukuuma empisa, nga terwana wabula nga ya bikolwa, kukuba ggoolo na kuwangula.
Katikkiro era asabye Abazannyi okubeera abeerufu mu nkola yÉmirimu, Obutalimba myaka , okwewala okulwana nÓkwewala ebiragalalagala nti kubanga biswaza nnyo abavujjirizi.
Minister wÉbyemizannyo , Abavubuka nÉbitone owek Robert Sserwanga Ssalongo,yebazizza tiimu ezizannyira munda mu ggwanga, era nabatendereza olw’okwagala ennyo Obwakabaka, nga bayita mu kuwagira eby’emizannyo.
Hajji Meyiwa Farook yebazizza Katikkiro nÓbwakabaka olw’okwagala ennyo bannabyamizannyo, era neyeeyama obutakoowa kuwagira nteekateeka nga ezÉmisinde gyÁmazaalibwa ga Kabaka egibaawo buli mwaka.
Bisakiddwa: Kato Denis












