Olunaku lw’abavubuka mu Buganda lwakukuzibwa nga 01 December,2023 e Bbowa mu ssaza Bulemeezi.
Olunaku luno lwakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Abavubuka twekuume Mukenenya tuzimbe ensi yaffe”.
Minister w’abavubuka mu Buganda Owek Ssalongo Robert Sserwanga abadde mu lukungaana lwa bannamawulire mu Bulange e Mengo, n’ategeeza nti enteekateeka z’okukuza olunaku luno mulimu ebyooto, ensiisira z’ebyobulamu ez’amateeka n’ebirala.
Ssentebe w’olukiiko olukulembera abavubuka mu Buganda olwa Buganda Youth Council BYC ,Baker Ssejjengo asabye abakulembeze b’abavubuka mu buli Ssaza okukunga abavubuka okwenyigira mukukuza olunaku lwabwe.