Obwakabaka bwa Buganda butegese ebyoto by’abavubuka mu masza gonna, okwongera okwefumiitirisa ku bulwadde bwa siriimu, n’okubwewala, ate ababulina banyiikire eddala.
Ebyoto bino zezimu ku ntegeka z’ebikujjuko bw’okukuza olunaku lw’abavubuka mu Buganda olugenda okubaawo nga 01 December,2023 mu Ssaza Bulemeezi ku Bukalasa Agriculture College.
Omulamwa gw’omwaka gugamba nti kumulamwa “Abavubuka twekuume mukenenya tuzimbe ensi yaffe”.

Minister w’abavubuka mu Buganda Owek Ssalongo Robert Sserwanga mu bubaka bwatisse Vivian Namale munamateeka w’olukiiko olw’abavubuka mu Buganda era nga Munamateeka wa Radio ya Kabaka CBS, bw’aweeredde ku kyoto ekikumiddwa ku mbuga y’essaza Bugerere, agambye olutalo lw’okulwanyisa mukenenya lutandikira ku nneyisa ya buli muntu, n’asaba abavubuka okwefumiitiriza ku bulamu bwabwe obwomumaaso.
Abavubuka mu ssaza ssingo nga bakulembeddwamu Fisal ssempijja basinzidde ku kyoto ekikumidwa ku mbuga y’essaza Ssingo Matutuma mu kibuga Mityana, kwebatoongolezza akayimba kebatuumye “empeke”, nga kalabula abavubuka kukabi akali mu kusaasaanya ekirwadde kya mukenenya, naddala abejaajaamya nga bwebalaba anyirira balowooza mulamu, nebasaabaana akawuka.
Ekitongole ekirwanyisa Mukenenya munsi yonna ekya UNAIDS kyalonda Ssaabasajja Kabaka okubeera emmunyeenye y’okulwanyisa mukenenya mu Uganda ne Africa yonna.#