Abavubuka 3 abawagizi bamunnamateeka Yusuf Nsibambi avuganya ku kifo kyomubaka wa Mawokota South ababadde bamuwerekerako okunoonya akalulu baggudde mu mugga gwe Lukolo mu kitoogo okuliraana ekitundu kye Bunjako, wabula nga nokutuusa kati tebanalabikako era tekimanyiddwa oba bakyaali balamu.
OKusinziira ku munnamateeka Yusuf Nsibambi , ye nebanne bwebanoonya akalulu, babadde boolekera Bunjako okunoonya akalulu wabula kabangali za Police ezibadde zikubyeeko abasirikale kwebasalirako ku lutindo lwomugga guno era mu mbeera eno abavubuka 3 kwekugwa mu mazzi nakati tebanalabikako.
Mu mbeera eno, bano bataddewo ebizindaalo okulanga balabe abavubuka bano oba basoobola okuvaayo, wabula nakati tebalabikako okuva ku saawa nga mukaaga embeera eno lweyabaddewo.
Munnamateeka Yusuf Nsibambi avumiridde effujjo eribakoleddwaako Police songa bannakibiina kya NRM mu kitundu ekyo kampeyini bazikola kyeere nga Police ebawa obukuumi.
Omwogezi wa Police mu bitundu bye Katonga Lydia Tushabe bwetumutuukiridde agambye ensonga eno abadde tanagimanyaako wabula kaginonyereze anatuuddira.
Ebyo nga bikyaali bityo, omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana ayimbuddwa ku kakalu ka Police okuva ku Police ye Katwe gyeyasuze oluvanyuma lwokukwaatibwa olunaku olweggulo, kubigambibwa nti Police yamusanze akubye olukungaana olususa mu bantu 70 akakiiko kebyokulonda bekaalagira okunoonyamu akalulu.
Omubaka ssewanyana agguddwaako omusango gwokugyeemeera ebiragiro nokwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusaasaanya ekirwadde kya covid19, wabula ono avumiridde kyayise effujjo lya Police erikolebwa kubannabyabufuzi abavuganya gavument songa bannaNRM enkiiko nenkungaana bazikuba kyeere nga police bwebakuuma