Aba Kalamoja abakazi 100 baweereddwa ekibonerezo kyakukola emirimu gya bulungi bwansi mu district zabwe gyebava okumala omwezi mulamba, basingisiddwa ogw’okusindika abaana abatanetuuka ku nguudo basabirize.
Abakyala bano baakwatibwa ekitongole ekiddukanya ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority, mu biseera Uganda bweyali yetegekera okukyaza abagenyi abeetaba mu lukungaana lwa Non ligned Movement (NAM) mu January wa 2024.
Omulamuzi wa City Hall mu Kampala Edgar Karakire agambye nti singa abakyala bano balemererwa okukola emirimu gya bulungi bwansi mu district zabwe, bakusibwa mu kkomera okumala omwezi mulamba.
Bisakiddwa: Betty Zziwa