Abantu 4 okuli n’omujaasi w’eggye lya UPDF ku kyalo Kobushera mu district ye Kagadi bapookya nebiwundu, ebibatuusiddwako empologoma eyadduka mu kkuumiro ly’ebisolo erya Kibaale National game park.
Abapooca bebamu ku bantu ababadde bayigga empologoma eno nga bagala okugitta,bagiranga okukakkana ku bisolo byabwe neebirya n’okusuza abatuuze ku bunkenke.
Ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo byomunsinko ki Uganda wildlife Authority kitegezezza nti omujaasi wa UPDF Corporal Amodoi Moses , olulabye empologoma n’agezaako okugikuba essasi, naye temulinze kugikuba kwekubuuka nemutaagulataagula.
Olwo omujaasi omulala olulalabye ng’empologoma etaamye kwekugikuba essasi erigittiddewo.
Abatuuze olwobusungu ,beesasuzza nebagibaaga nebagabana ennyama y’empologoma eno ebadde ensajja ,ekitongole kyebisolo byomunsiko kitutteko ddiba na mutwe byokka.
Bashir Hanji omwogezi w’ekitongole ky’ebisolo byomunsiko ,annyonyodde nti omudduumizi wa police mu district ye Kagadi yabadde abategezezzaako ku mpologoma eno nti erumbye ekyalo Kobushera,naye tebasobodde kugitaasa bagenze omutuuka basanze emaze okuttibwa.
Hanji agambye nti Uganda WildLife egenda kukswasizaako abantu abagajambuddwa empologoma eno,bajanjabibwe.
Omuyiggo gw’empologoma eno gubadde gwetabiddwamu abakozi.ba UWA,abasirikale ba police ye Kagadi,n’amagye nga gaduumirwa Lt Col James Lubega owenkambi y’amagye eye Kyaterekera UPDF battallion.