Abantu ba Ssaabasajja e Kabula, basonze ensimbi obukadde 35 mu buliwo okuyambako ku mulimu gw’okuddaabiriza embuga y’essaza.Ssentebe w’olukiiko oluzimbi era yali omumyuuka w’owessaza Lumaama eyawummula Owek. Vicent Mayega, agambye nti Covid 19 newakubadde yabataataaganya naye balina webatuuse ku mulimo ogwokudabirizza embuga ye Ssaza Kabula.Omwami wa Kabaka Ow’essaza Kabula Lumaama David Luyimbaazi Kiyingi, asabye bannaKabula okwongera okubakwasizaako mu nteekateeka z’okuddaabirizza essaza.Bino bibadde ku mukolo Lumaama n’omumyukawe kwebajagulizza okuweza emyaka ebiri mu buweereza, era omubaka omukyala ow’e Lyantonde Kemirembe Kyaka yeebazizza Obwakabaka olw’omutima omugatta omutali busosoze.