Abantu 8 bafudde n’abalala 20 basigadde n’ebisago eby’amaanyi, mu kabenje akagudde e Kabaale Bugonzi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka.
Bus kika kya Isuzu ya kampuni ya Jaguar No.UBP 964T etomereganye ne Isuzu Elf UAV 988N.
Alipoota ya Police etegeezezza nti omugoba wa bus ebadde eva e Kampala ng’egenda e Rwanda abadde ayisa emmotoka endala, kwekwambalagana ne Isuzu Elf ebadde eva ku ludda olwe Masaka.
Mu kabenje kano akaguddewo ku ssaawa nga mwenda n’ekitundu ez’ekiro ekikeesezza Sunda nga 01 September,2024 Bus egudde neyevulungula emirundi egiwera.
Abadduukirize bayambyeko okutaasa abakoseddwa nebaddusibwa mu ddwaliro ekkulu e Masaka, n’emirambo negitwalibwa mu ggwanika, ate emmotoka ezifunye akabenje zitwaliddwa ku police ye Lukaya.#