Police etegezeza nti yakafuna emisango ettaano egy’abantu abafiiridde mu myala olw’enkuba etonnya, mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, nerabula abantu bonna okubeera obutamala gatambulira mu nkuba ng’etonnya.
Fred Enanga omwogezi wa police mu ggwanga ategezeza nti emisango gino 5 egy’abantu abatwaliddwa amataba bagifunidde mu wiiki emu.
Enanga ategezeza nti abafudde kuliko abantu abakulu n’abato abaatwaliddwa amataba nga bava ku masomero.
Wano Fred Enanga wasinzidde n’alabula abantu naddala abaliranye emyala n’abavuzi b’ebidduka okubeera abagendereza ate n’okukwewaala okuwaliriza okuyita mu mazzi ng’enkuba etonnya.
Ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku ntebereza y’obudde mu gwanga ekya Uganda National Meteorological Authority “UNMA” bafulumizza enteebereza y’enkuba ey’amaanyi esuubirwa okutonnya mu bbanga ery’e myezi 4, okuva September okutuuka December 2023 nga yakubaamu ebibamba, omuli amataba, okubumbulukuka kw’ettaka n’endwadde.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico