Abantu babiri bakubiddwa amasasi e Kiwaatule mu gombolola ye Nakawa mu kibuga Kampala, nga Ssabbiiti Barnabas abadde omugoba wa bodaboda afiiriddewo ate Albert Cook Tugume owa mobile money afudde addusibwa mu ddwaliro.
Omumyuka wa Lord Mayor wa Kampala Doreen Nyanjula agambye nti attiddwa mmwanyina ye Albert Cook Tugume abadde alina edduuka lya Mobile Money mu kitundu ekyo.
Okusinziira ku alipoota ya Police, byebaakazuulako biraga nti Tugume yabadde ateekateeka okunnyuka, newabaawo omusajja eyamulumbye n’amulagira amuwe sente zonna zeyabadde akoze era n’egezaako okugaana, awo owa bodaboda eyabadde okumpi n’agezaako okubiyingiramu, omubbi omulala eyabadde yekwese n’amukuba essasi eryamuttiddewo.
Tugume yagezezaako okudduka n’ensimbi, wabula ababbi nebamuwondera nebamukuba amasasi nebamuggyako ensawo omwabadde ensimbi nebadduka.
Police egamba nti waliwo emmotoka gyebazudde No. UBH 045H ebadde ejjudde ebituli by’amasasi gyebasuubira nti ebijikwatako bigenda kubayamba mu kunoonyereza ku ttemu lino.












