Abamegganyi b’Entanda ya Buganda batandise okusoyebwa ebibuuzo mu Nkuuka Tobongoota 2023, egenda mu maaso mu Lubiri e Mengo.
Abamegganyi 6 kuliko Nassiwa Prossy eyeddira Engo, Bogere Richard yeddira Nnyonyi Enyange, Ssemaganda Gerald yeddira Ngabi, Kayemba Ronald yeddira Empologoma, Kiberi Kizito yeddira Mmamba ne Bukenya Francis eyeddira Engabi.
MU bamegganyi bano 6 mwemusuubirwa okuva mu Omuzira mu Bazira wa 2023..#