
Abakulu mu kibiina kya democratic party bali mu kasattira olwabamu ku bannakibiina kino okulangirira mu lwaatu nti ssi bakuwagira ssenkaggale wekibiina kino Norbert Mao kubwa president bweggwanga nti bakuwagira Robert Kyagulanyi Ssentamu kubwa president
Ekibiina kino mu kusooka nga kiyita mu ssenkaggale waakyo Norbert Mao kyaalo kitaddewo enkolagana nekisinde kya people power bwekyaali tekineeyubula okutuuka ekibiina ekyetongodde ekya National unity platform
Nobert Mao yoomu ku bakulembeze bebiina abaali bakola ennyo okulaba nti ebibiina byegatta bifune omuntu omu kubwa president yaaba akwaatira ebibiina byonna bendera kubwa president ,Wabula nobert Mao gyebuvuddeko oluvanyuma lwattabamiruka wekibiina kino eyali e Gulu,yalangirira nti wakwesimbawo kubwa president ebyokwegatta yabivuddeko
Kati bannakibiina kino bangi,ekibiina bekyaawadde kaadi okuvuganya ku bifo ebyenjawulo okuli nebyobubaka bwa parliament abakyoogera olwaatu nti ssi bakuwagira Norbert Moa kubwa president
Abamu ku bano nebipande byebakubisa,biriko omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi ssentamu nti gwebaggya okuwagira kubwa president
Omwogezi wekibiina kya DP Okoler Opio agamba nti bano kino bakikola mu bumenyi bwamateeka,wabula ekibiina kino tekirina kyakubakolera Ddembe lyaabwe wabula baba bamenya ssemateeka wekibiina onutawagira muntu ekibiina gwekiba kisimbyewo
Cbs radio eno ekitegeddeko nti abakulu mu kibiina kino bagala okuddamu okuteeeseganya nekibiina kya NuP ku nsonga ezitali zimu okuli nokukolera awamu ,wabula bwetuubuziza omwogezi wekibiina kino Okoler Opio ku nsonga eno agambye nti enkolagana eno weeri era tevangawo yetaaaga kwongeramu bwongezi birungo okugyako nti waliwo abantu abaali bagitabula