Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’awa abamu ku bakozibe mu radio ya CBS ettaka, abazze basukkuluma ku banaabwe mu buweereza.
Abafunye ettaka ye Engineer Charles Kasujja eyasukuluma mu 2018, Nassonko Sylivia mu 2019, Kavuma Davis 2020 ne Wamala Balunabba Gaaluleeba eyasukkuluma mu 2021.
Ettaka lino lisangibwa ku kyalo Kindeke mu muluka gwe Kabbega mu Town Council ye Ssekanyonyi, mu district ye Mityana mu ssaza lya Beene Ssingo.
Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe abawanguzi abakubirizza okulikolerako ebintu byenkulakulana, bave ku ddaala kwebali beyongereko.