Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alabudde abaweereza ku mutendera egyenjawulo naddala abanaatera okunnyuka obuweereza obwenjawulo okukomya okwejalabya wabula bateekereteekere obulamu bw’okunnyuka obuweereza.
Katikkiro agamba nti abakozi bangi abatereka ensimbi mu bittavvu bafiirizibwa ebitagambika, olw’obutateekerateekera bulamu bwabwe, nebasalawo okulya obulyi ensimbi, nebatawaanya ab’emikwano n’Enganda nga bawummudde.
Bwabadde aggulawo olutuula lw’abaweereza mu kittavvu ky’Obwakabaka ki Buganda Provident fund mu Bulange e Mengo, Katikkiro asabye abateresi okubeera abeesigwa n’okwewala obukumpanya ku mirimu.
Katikkiro asabye abaddukanya ebittavvu ku mitendera egyenjawulo okugoberera amateeka n’emitendera egiyitwamu okugabanya ensimbi, kimalewo obukumpanya.
Mungeri eyenjawulo Katikkiro asabye abaweereza mu Bwakabaka abalina emirimu egyenjawulo gyebakola okuginyweeza n’okugirondoola mu ngeri ennungi.
Ssentebe w’Ekitongole ky’obwakabaka ki Buganda provident fund era nga ye mu myuka asooka owa Katikkiro Owek Dr Haji Prof Twaha Kawaase Kigongo, agambye nti ekittavvu kino kyakwongera okukula ssinga abaweereza bonna mu Bwakabaka bakyegattako, naasaba abakozesa mu bitongole by’Obwakabaka okukyettanira.
Bisakiddwa: Kato Denis