Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwémisinde munsi yonna kirangiridde nti bukyanga lubanga lwa mindi, ku mulundi guno abaddusi mu mpaka za Olympics ezigenda okubeera mu kibuga Paris ekya Bufalansa omwaka guno 2024 abanawangula emidaali egya zaabu, bakufunirako ensimbi enkalu.
Okusinzira ku kibiina kyémisinde ensimbi za doola obukadde 2.4 ze zigenda okugabanyibwa mu baddusi 48 abasajja n’abakazi.
Abaddusi babadde tebafuna nsimbi mu mpaka za Olympics kati emyaka 128 nga empaka zino zitojjera.
Omuddusi anawangula zaabu ajja kufuna ensimbi za doola emitwalo 5 buli omu, ate abaddusi abémisinde egyókuwanyisiganya obuti bonna bajja kugabana ensimbi emitwalo 5 egya doola.
Mungeri yeemu abakulu era bakakasiza nti mu mpaka za Olympics eza 2028 ezinabeera mu Los Angeles mu America, lwebajja okutandika okugaba ensimbi eri abanawangula emidaali gya feeza négyekikomo .
Empaka za Olympics eza 2024 ezigenda okubeera e Paris Bufalansa zigenda kutandika nga 26 July, okutuuka nga 11 August.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe