Omutaka abadde ow’akasolya mu kika ky’akayozi Kafumu Emmanuel Hobison Ddamulira Ssebitaaba Bitaaba aterekeddwa ku kyalo Mbaale Kiganwa mu ssaza Ssingo.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II aweerezza obubaka obusaasira ab’ekika ky’akayozi n’abenju olw’okuviibwako omutaka akulembedde obulungi ekika.
Nnyininsi Musota agambye nti Omutaka abadde musaale mukulwanirira n’okukuuma ennono n’obuwangwa.
Obubaka bw’omuteregga busomeddwa Minister omubeezi awa Government ez’ebitundu mu bwakabaka owekitiibwa Joseph Kawuki, era n’asaba abantu okukuuma obutonde naddala entobazi.m emigga, ennyanja, ebibira nebirala omubeera ebika byaffe.
Ku mikolo gy’okutereka Kafumu kubaddeko ekitambiro kya Missa ekikulembeddwamu Omubaka wa Paapa eyawummula Archbishop Augustine Kasujja.
Ssaabasumba asabye abakkiriza okwetegekera amagenda gabwe nga bakyali munsi, nti kuba okufa kya tteeka nga tewali ayimza kutuuka mubwakabaka bwamu ggulu nga tayise mu kufa.
Omusumba Kasujja yakulembeddemu ekitambiro kya missa ku mukolo gw’okutereka omutaka Ssebitaaba, n’akikaatiriza omutaka obuvunaanyizibwa bwe bwonna abukoze kunsi, ng’abadde aweerezza obuwangwa bwe n’eddiini ye.
Kafumu Emmamuel Hobison Ddamulira Ssebitaaba akulembedde ekika okumala emyaka 44 okuva mu 1979.
Mu ngeri yeemu olw’abantu abataagala kwetaba mubitambiro bya missa ku mikolo nga gino egigatta abantu bonna nga bekwasa nti sibakatiliki nagamba nti kino sikituufu.
Omutaka Ddamulira Ssebitaaba yaliko ssentebe wa Democratic Party mu district ye Mubende bweyali tenakutulwako Mityana ne Kassanda.
Bisakiddwa: Alice Naggirinya, James Kaana Ssebuguzi ne Membe John