Abadde minister w’ekikula ky’abantu, ebyenjigiriza, eby’obulamu ne wofiisi wa Nnabagereka Owek Dr prosperous Nankindu Kavuma yeebazizza Ssabasajja Kabaka olw’okumuwa omukisa okuwereza eggwangalye Buganda ku mulembe guno omutebi.
Owek Nankindu bino abyogeredde ku Mbuga enkulu ey’obwakabaka bwa Buganda, Bulange Mengo bwabadde awaayo Office eri munne eyamudidde mu Bigere Owek Cotilda Nakate Kikomeko.
Owek Cotilda Nakate yeebazizza Owek Nankindu olwebbanaga lyamazze mubyenjigiriza mubwakabaka n’ategeeza nti omusingi omunene guzimbiddwa, bwatyo nasaba balina okukola nabo okutwala emirimu mumaaso n’okukuuma ebitukiddwako.
Professor Vincent Kakembo nga yamyuka Chancellor wa Muteesa I Royal university, yeebazizza Owek Nankindu olw’obuvumu n’okwagala kwabadde akozesa ng’awereza, ekibayambye okufuna Charter ku mulembegwe.#