Ababaka ba parliament eye 12 bamalirizza okulayira, mu nteekateeka emaze ennaku 3 ng’eyindira ku parliament ya Uganda, kati balindiridde kulonda bakulembeze babwe okuli sipiika wa parliament n’omumyuka we.
Okulayiza ababaka ba parliament eye 12, kwatandiika ku Wednesday nga 13 May,2026.
Ababaka 528 bebakubye ebirayiro ebibafudde ababaka ba parliament eye 12 abajjuvu.
Ekifo ky’omubaka omukyala owa district ye Kalangala mu kiseera kino kyekikyali ekikalu, olw’omubaka eyali alondeddwa Hellen Nakimuli okufa.
Akakiiko k’ebyokulonda kakola enteekateeka abalonzi be Kalangala okuddamu okukkira obubokisi balonde omubaka ajjuze ekifo kino, olwo ababaka ba parliament eye 12, bawere 529.
Nga 25 May, 2026 ababaka ba parliament bakutuula mu lutuula lwa palament ey’e 12 olunaasookera ddala, okulonda Sipiika wa parliament n’omumyuuka we.
Parliament eno eye 11 ekomekkerezza emirimu gyayo, ebadde ekubirizibwa Anita Annet Among n’omumyuuka we Thomas Tayebwa.
Ababiri bano okudda ku bifo bino kikyali mu lusuubo, olw’amannya gabwe okusooka okusembebwa baddemu balondebwe bakulembere parliament, ate oluvannyuma ssentebe w’ekibiina era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni naalangirira nti ababiri abo bakyayimiriziddwa.
Kigambibwa nti omubaka wa West Budama North, Jacob Oboth Oboth yayolekedde okuwandibwako eddusu akwatire NRM bendera kubwa sipiika.
Ate ku ky’omunyuka amannya agakyatunuuliddwa kuliko omubaka omukyala owa Gomba West Robinah Gureme Rwakoojo, Lydia Wanyoto omubaka omulyala owekibuga Mbale, Lilian Aber omubaka omukyala owa district ye Kitgum ne Dr. Jane Ruth Aceng omubaka omukyala ow’ekibuga Lira.
Olwokaano lwobwa sipiika bbo abooludda oluvuganya government bakyabirengerera ku bbali nga muddalizo, olwa Munna DP Nobert Mao eyakesowolayo okuba ng’enkolagana ye esiinga kubeera na kibiina kya NRM okusiinga ab’oludda okuvuganya.
Okusalawo okyenkomeredde ku bikwata ku anaabeera sipiika wa parliament eye 12, byakusalibwawo ekibiina ekiri mu buyinza ki NRM, kubanga kyekisinga ababaka abangi mu parliament bakunukkiriza mu 400.
Parliament eyawamu erimu ababaka 529 abakuba akalulu.#













