Police ya Old Kampala eriko abasajja 6 beggalidde ku bigambibwa nti babadde bagufudde mugano okuwamba pikipiki z’abagoba ba Booda mu Kampala nga beeyita abakwasisa amateeka.
Abakwate kuliko Mayanja Atanasi, Ndasirye Fred, Kaabugho Kosea, Monday Edison, Mwebaze Deusi ne Ssebunya Hassan nga babadde baduumirwa Kanyike Kiviiri.
Kino kiddiridde abagoba ba Booda ababadde abakaawu okulumba yafeesi y’abagoba ba Booda eya Kampala Central Division esangibwa ku ABC Plaza ku Martin Road, nga baagala bamanye ekikwasa piki zaabwe n’Okubagyako ensimbi okuzibaddiza.
Pikipiki 32 zeezisangiddwa mu kifo kino nga kati ziri mu mikono gya police.
Kisaliddwaawo nti bonna abagibwako piki zabwe bazinone ku police nebiwandiiko byazo.
Ababadde beefudde abakozi mu kifo kino bataddeko kakokola tondeka mabega, police nabo ebawenja.
Omwogezi wa policr mu Kampala n’emuriraano Patrick Onyango, avumiridde ekikolwa ly’Abantu abefuula abakwaasisa amateeka nebatulugunya banaabwe, era naalabula nti abanakwamatibwa baakuvunaanibwa mu mbuga z’amateeka.
Bisakiddwa: Kato Denis