Miniater wa goverment ez’ebitundu Balamu Barugahare Ateemyi ayisizza ebiragiro 7, byalagidde abakulembeze ba government ez’ebitundu basse mu nkola mbagirawo, ekigendererwa kyakulwanyisa obulyi bw’enguzi , okuddibaga emirimu awamu n’okutumbula embeera z’abantu mu ggwanga.
Ebiragiro bino kuliko okukkiriza bannamawulire okwetaba mu nkiiko za districts, amagombolola, town councils, ebibuga ne munisipaali nga zigenda mu maaso, era bakkirizibwe okukwata ebigenda mu maaso nga bwekikolebwa mu parliament yeggwanga.
Ebiragiro ebirla bikwaata ku mwenge, amabaala n’ettamiiro, n’embalirira za government ez’ebitundu nebirala.
Minisita Balamu alagidde amabaala gaggulibwewo ku saawa 9 ezolweggulo, aganagaana okugondera ekiragiro ekyo alagidde abebyokwerinda bamuvunaane mu mateeka.
Abaana abatasukka myaka 18 egy’obuulu alagidde tebaddamu okuguzibwa yadde okukkirizibwa okunywa omwenge.
Alagidde abakulembeze ba government ez’ebitundu babeere basaale mu kukunga bannanansi okwesonyiwa okukeera omwenge, n’ebbaala eziggulawo ng’essaawa eziragiddwa tezinatuuka ziggalibwewo ab’ebyokwerinda.
Minister Balamu Barugahare agambye nti ekiragiro kino ku mabaala, kigendereddemu okukendeeza ku butabanguko mu maka, obwakirerereese, obumenyi bw’amateeka nebirala ebiva ku ttamiiro.
Minista Balamu era alagidde obukulembeze bwa government ez’ebitundu bwonna okussa mu lwaatu embalirira zebitundu ebyo ezibeera ziyisiddwa, nga zitimbibwa ku notice board oba mu bifo ebyolukale, kisobozese abantu babulijjo okumanya ebiri mu mbalirira z’ebitundu byabwe ebyo n’okulondoola ebikolebwa.
Ebiragiro bino minisita Balamu alagidde bitandikirewo mbagirawo wabula bissibwe mu nkola wakati mu kugoberera amateeka g’eggwanga.#







