Police mu Kampala n’emiriraano yakakwata abantu 21 ku by’okutemula eyali Captain wa tiimu ya Villa Jjogo, David Owor eyatemulwa mu bitundu bye Nsambya mu division ye Makindye.
David Owor yalumbibwa abanyazi bweyali atambula ng’adda ewaka we ku luguudo Nalinnya Mpologama, nebamukuba paver ku mutwe nebamunyagako byonna byeyalina.
Abazira kisa baamusanga mu agudde eri nebamuyoolayoola ne bamuddusa mu ddwaliro lya Albert Cook, oluvanyuma natwalibwa ku Case Clinic gyeyafiira.
Police ekutte Munyanezi Bashir amanyiddwa nga Jemo ne Magoba Samuel abagambibwa okukulemberamu obubinja bw’abazigu abakuba abatambuze nebabanyagako ebyabwe.
Police ekizudde nti bano ku lunaku lwebatta David Owor baaatalaaga ebitundu okuli Nabisaalu, Kirombe, Nsambya n’ebirala ebiriranyeewo era baanyaga abantu abawera.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Racheal Kawala agambye nti
police mu kikwekweto kyekoze eriko ebizibiti byezudde, biteeberezebwa okuba nti byebabadde bakozesa okutigomya abantu okuli , pikipiki emu,kamulali gwebakuba abantu mu maaso, engatto n’ebirala.#









