Ministry evunanyizibwa ku by’entambula n’enguudo esobeddwa olw’ebbeeyi yamafuta eyekannamye, ministry gyerumiriza nti eviiriddeko projects z’enguudo nnyingi okuziηηamya.
Ekibinja ky’abakulu mu ministry y’ebyentambula ekikulembeddwamu minister omubeezi ow’ebyenguudo Siraje Musa Ali basinzidde mu kakiiko ka parliament akalondoola ebisuubizo bya goverment ,okutangaaza ku nteekateeka wezituuse ez’okuzimba entindo ku nguudo ezitali zimu government zezze esuubiza okuva mu. mwaka gw’ebyensimbi 2024/2025
Minister Siraje Musa Ali abuulidde akakiiko kano akakubiriziddwa omubaka omukyala owa district ye Soroti Anna Adeke, nti ministry ey’ebyenguudo ekola ekisoboka okutuukiriza obweyamu n’ebisuubizo bya government eby’okuzimba entindo, wabula projects nnyingi beesanze nti amafuta gebaali babaliridde tegamala olw’ebbeeyi y’amafuta eyalinnya ekireetedde emirimu mingi okutambula akasoobo.
Minister Sairaje Musa Ali agambye nti olutalo lwa Iran ne America olwavaako ebbeeyi y’amafuta okulinnya, terwakosa bantu babulijjo bokka, nabo nga ministry bakosebwa kubanga amafuta gebaali bababaliridde okukozesa tegamala.
Agambye nti ebisale byebaabalirira amafuta byalinnya dda nga liita eyali egula shillings 5000 ebiseera biri, Kati eri mu 6500 n’okudda waggulu.
Mu nsisiinkano Eno, omubaka omukyala owa district ye Masaka Joan Namutaawe wabuulizza wa ministry wetuuse ku by’okukola olutindo lwa Katonga oluli ku luguudo lwa Kampala -Masaka.
Minister Siraje Musa Ali agambye nti olutindo lwa Katonga lwakuggulibwawo ng’omwezi guno ogwa August 2026, tegunaggwako, ate ebitundu ebirala ku luguudo olwo byakujjibwako engalo mu mwezi gwa September 2026.
Agambye nti olutindo luno era lugenda kuteekebwako amataala agakuba ewala, okusobozesa ebyentambula ku lutindo olwo okulongooka.








