Abazannyi b’omupiira ogw’ebigere 2 bafudde mu ngeri etiisa, nga ye Rogers Ssebyondya owa ttiimu y’essaza Bulemeezi mu mpaka Masaza ga Buganda, n’abadde captain wa Villa Jogo Ssalongo eya Uganda Premier League David Owori.
Omuzannyi wa Bulemeezi Rogers Ssebyondya afiridde mu ddwaliro e Mulago, oluvanyuma olw’obuvune bwe yafunira mu mupiira, Bulemeezi bweyali ettunka ne Kyaggwe ku Sunday nga 02 August,2026 mu kisaawe kya Kasana Luweero.
Omupiira ogwo Kyaggwe yaguwangula goolo 1-0.
Wabula Rogers Ssebyondya teyamalako mupiira ogwo oluvanyuma lw’okutomeragana n’omukwasi wa goolo ya Bulemeezi, era yagibwa mu kisaawe naddusibwa mu ddwaliro gy’afFiridde.
Omubiri gw’omugenzi Rogers Ssebyondya gutwaliddwa mu kisaawe kya Kasana Luweero abawagizi b’omupiira okugukubako eriiso erisembayo.
Rogers Ssebyondya abadde yakomyewo mulundi gwakubiri okuzannyira Bulemeezi ku round ey’okuddiηηana mu bibinja mu mpaka ez’omwaka guno 2026.
Ssebyondya ajjukirwa okuyambako Bulemeezi okuwangula ekikopo kya Masaza mu 2019 e Namboole, Bulemeezi bwe yakuba Busiro goolo 1-0.
David Owori Cptain wa Villa Jjogo naye afudde
Abadde Captain wa Villa Jogo Ssalongo David Owori afiridde mu ddwaliro lya Case Clinic, oluvanyuma lw’okulumbibwa abazigu mu kiro ekyakeseza olw’okubiri nga 04 August,2026 bweyali adda ewakawe e Makindye mu Kampala.
Owori abadde Captain era nga yali musaale nnyo ku ttiimu ya Villa Jogo Ssalongo eyawangula ekikopo kya liigi eky’omulundi ogwe 17 mu season ya 2023/24.
Yazannyirako Proline ne Vipers.
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde bannabyamizannyo bano, nga kwotadde n’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, Parliament ya Uganda, club ezenjawulo zibakungubagidde.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe










