Nnaabagereka Sylvia Nnaglginda alangiridde nti Obwakabaka Bugenda kuzimba ekifo eky’enkalakkalira ewanaategekebwanga ekisaakaate.
Bino aby’ogeredde ku Mbuga enkuku ey’Obwakaba bwa Buganda e Bulange Mengo, bwabadde atongoza ekisaakaate 2027, ekigenda okubeerayo okuva nga 5th – 16th January.
Nnaabagereka era agambye nti ekyamutandisaawo ekisaakaate kwekukuuma Obuwangwa n’ennono n’okutumbula obuntubulamu ebyali biserebye mu miti emito,
Ategeezezza nti Musanyufu kubanga mu myaka 20 egy’ekisaakaate ekigendererwa ky’e kituukiridde.
Minister wa Buganda avunaanyizibwa ku nkulaakulana y’abantu ba Ssaabasajja ne Office ya Nnaabagereka Owek. Cotilda Kikomeko yeeyamye okukola buli ekisoboka okutwala mu maaso omulimu gwa Nnaabagereka ogw’okuteeka empisa ey’obutubulamu mu baana.
Akulira essomero lya Hormesdalen , Mugundi Godfrey nga lino ly’elyategeka ekisaakaate ky’omwaka guno 2026, asabye Nnaabagereka okubongera omukisa okuddamu okukitegeka.
Omwaka ogujja ogwa 2027 ekisaakaate nga kiweza emyaka 20, kya kutegekebwa essomero lya Gayaza Junior School.
Mu buufu obwo akulira essomero eryo Sarah Tebugulwa Kizito agambye nti baakukitegeka mu ngeri eyenjawulo etali ya bulijjo.
Ku Lw’abavujjirizi, akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku bakozi mu MTN Uganda, Masagazi Joakim agambye nti MTN ewaddeyo obukadde 80 okuwagira ekisaakaate ky’omwaka 2027.
Masagazi era asabye abavujjirizi n’abazadde okwongera okuwagira ekisaakaate kubanga Kigunjula abantu abagatta ettoffaali ku nkulaakulana y’eggwanga.
Ssentebe w’akakiiko akafuzi ak’ekisaakaate Dr. Jeff Ssebuyira yeebazizza bonna abayambyeko Nnaabagereka okutegeka ekisaakaate okuva mu 2007 nti bayambyeko Maama Nnaabagereka okugunjula abantu ab’omugaso eri e ggwanga.
Ekisaakaate kyetabwamu abaana okuva ku myaka 6 okutuuka ku myaka 18.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus








