Eyaliko president wa FDC era munnamagye eyawummula Dr. Kizza Besigye atendewaliddwa naagwa mu kooti, oluvannyuma lw’okuva mu mbeera ng’awakanya ekya govermment okumuwa bannamateeka okumuwolereza ne munne Obed Lutale Kamulegeya.
Babadde mu maaso g’omulamuzi Emmanuel Baguma.
Besigye atabukidde mu kaguli ng’agamba nti alina obusobozi okwesasulira bannamateeka, nti wabula ekimwennyamiza ye government okulemesa bannamateeka baafuna, ng’ebaggulako emisango neebasiba mu makomera, abalala nti batiisibwatiisibwa, saako okulemesa abava ebweru okuyingira Uganda.
Besigye abadde omukaawu ng’akangudde eddoboozi agambye nti tayiinza kukkiriza government kumuwa bannamateeka, era naatiisatiisa okuva mu kooti bamuzeeyo mu komera, mu kifo ky’okumumalira obudde mu kkooti gyatasuubira kufunirayo bwenkanya.
Okumala eddakiika nga 10, abadde ayogera ebyo byonna nga bwakuba emmeeza ng’atadde mask ku mimwa, era olusirise balabidde awo ng’agwa wansi olwo ab’amakomera nebamuyoolayoola.
Bino byonna bigenze okubaawo, omulamuzi Baguma abadde ategeezezza nti emisango egivunaanibwa Besigye ne banne gya nnaggomola, era nti balina okubeera ne bannamateeka ababawolereza.
Government yabawadde bannamateeka 3 okuli Sylvia Namawejje, Julius Sserwambala, ne Sarah Awelo okubawolereza, okuvannyuma lw’eyali munnamateeka wabwe omukulu Ssalongo Erias Lukwago, naye government okumuggulako emisango gy’okumanya ku lukwe lw’abaali bagala okuwamba government naatabuulira baabuyinza.
Besigye bannamateeka bebaamuwadde yagaanye okubasisinkana, era nategeeza nti ye banne bwebavunaanibwa balina obusobozi obwefunira bannamateeka abasobola okubawolereza ne bafuna obwenkanya.
Besigye era ategeezezza nti alina okusaba kweyassa mu kooti okulina okuwulirizibwa omulamuzi Simon Peter Kinobe, nga kati kwekulina okusooka okuwulirizibwa olwo emisango emirala giryoke gigende mu maaso.
Omulamuzi Baguma alagidde oludda oluwaabi okugenda mu maaso n’okwanjula omujulizi asoose alumiriza Dr.Kiiza Besigye ne banne nga ye Andrew Wilson, munnansi wa America.
Wano Besigye watandikidde okutabuka, na n’okwogerera Omulamuzi ebisongovu.
Amaanyi bwegamuweddemu nagwa wansi, awo Omulamuzi naayimiriza kooti naafuluma, alese ab’amakomera nga bamuddaabiriza.#
Bisakiddwa: Betty Zziwa












