Munnamaggye era abadde omubaka wa parliament owa Adjuman West, nga yaliko omumyuka wa Ssaabaminister w’eggwanga ebisanja ebiwerako General Moses Ali, aziikiddwa mu limbo ku muzikiti gwa Masjid Taqua okuliraana amakaage mu district ye Adjuman.
Aziikiddwa enkumi n’enkumi z’abakungubazi okuva mu bitundu bya West Nile ebyenjawulo, bannabyabufuzi ku mitendera gyonna ne bannaddiini, saako abaana b’amasomero.
Buli abadde afuna akazindaalo okwogera, saako abantu ababadde bakwatiridde ku nguudo, buli omu amutenderezza nga bwabadde mugatta bantu, omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu ate nga tasosola muntu yenna.#











