Okunoonya akalulu kaabesimbyewo ku bwa ssentebe bw’ebyalo okwetoloola eggwanga lyonna kutandise nga 20 July okutuuka nga 27 Juky,2027.
Okulonda ba ssentebe be byalo kwakubeerawo nga 28 July, era nga kwakusiimba mu mugongo.
Akakiiko kaamalirizza okusunsulamu bonna abegwanyiza obwa ssentebe mu byalo ebisuka mu mitwalo 7 okwetoloola e ggwanga lyonna.
Okunoonya akalulu kutandika essaawa emu okutuuka saawa kumi nabiri ezakawungezi.
Omwogezi w’aakiiko ke byokulonda Julius Muchunguzi ategezezza nti abakozi babwe okwetoloola amagombolola gonna, gyebali okulaba nga buli kimu kitambula bulungi.
Mucunguzi awadde amagezi eri abavuganya bonna okugoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
Abamu ku bavuganya ku bwa ssentebe bw’ebyalo baasaba government, olunaku lw’okulonda olwa nga 28 July,2026 erufuule olw’okuwummula abantu basobole okwenyigira mu kulonda mu bungi, wabula government tenabaako kyeyogera ku ensonga eno.#










