Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abantu ba Buganda ne Uganda bonna okwongera amaanyi mu kukuuma n’okuzzaawo Obutondebwensi, Uganda ereme kufaananako n’amawanga ge Bulaaya atabawaanyizibwa ebbugumu.
Katikkiro agamba nti mu nkola ennuηηamu, banna Uganda basaanye okwettanira tekinologiya okutambuza Obulamu, naddala nga beewala okutema Ebibira , nóbutakoowa kusimba miti egivaako Amanda, enku n’okukolamu ebintu ebirala ebiva mu miti.
Abadde asisinkanye ab’ omukago ogutaba banneekolera gyenge aba Private Sector Foundation Uganda, ababadde bakyadde mu Bulange Mengo ne bannamukago babwe aba Radio ya Buganda CBS FM, okumwanjulira entrekateeka yabwe ey’okukubiriza abantu okukomya okufumba ku nku badde ku ssigiri ezikekkereza amanda etuumiddwa Inclusive markets for energy efficiency.
Katikkiro agambye nti ssinga okutema Emiti tekuluηamizibwa nekusigala kwebyo byokka ebiteewalika nga biva mu miti, Uganda yandifuuka ekizibu eri abagibeeramu.
Katikkiro asabye buli munnauganda yetabe mu nteekateeka y’okukuuma Éggwanga , nga bayita mu kukuuma Obutondebwensi nÓkuvumirira bonna ababutyoboola.
Ssenkulu wa CBS Omuk Michael Kawooya Mwebe, agambye nti CBS yetabye mu ntegeka ez’enjawulo ne Private Sector Foundation era ziriko engeri gyezikyusizza Obulamu bw’abantu.
Katikkiro era agenda kutongoza enteekateeka yÉkitongole ki Private Sector Foundation Uganda eyÓkusitula ebyenfuna byÁbakyaaka eya GROW, nga ekolaganira wamu ne CBS PEWOSA Kyadondo SACCO, mu ssaza Butambala Kibibi.#
Bisakiddwa: Kato Denis













