Abantu 3 ku baali baddukira mu kooti okuwakanya obuwangizi bw’abamu ku baawangula ebifo by’obubaka bwa parliament mu kalulu ka 2026, babiggyemu enta emisango nebagiwanduukululayo.
Kuliko ogwa munnaPFF Fred Turyamuhwezi eyali yawawabira minister w’obutebenkevu bw’eggwanga Maj General Jim Katuguugu Muhwezi, ku kifo ky’omubaka wa parliament owa Rujumbura mu district ye Rukungiri.
Omulala ye Hajji Ismail Badogi Waguma eyali yawawabira munnaNRM Kungu Samuel Bamuteeze ku kifo ky’omubaka wa parliament owa Kigulu North mu district ye Iganga.
Waliwo ne munnaNRM Sarah Inachu eyagyeeyo omusango gweyali yawawabira munnaFDC Joan Alobo, ku kifo kyomubaka omukyala ow’ekibuga Soroti.
Oluvanyuma lwa bannabyabufuzi abo okusaba koooti bawandukulule emisango gyebaali baawaaba, kkooti zikakasizza obuwanguzi bwabo bebaali bawawaabira.
Ssaabakunzi wa NRM mu ggwanga Dr Rosemary Nansubuga Ssenninde agambye nti ekibiina kisanyufu nnyo olw’obuwanguzi abantu baabwe lwebatuseeko, era asabye abalala abaali bawaaba emisango ng’egyo nabo bakole nga banaabwe.
Rosemary Ssenninde agambye nti okuwaaba omusango gw’ebyokulonda mu kkooti ssi lutalo lwangu lwakuwangula, naagamba nti abo abagigyeyo bwebaba balina kyebalengedde, ekibiina kyaniriza enteekateeka zaabwe.
MunnaPFF Fred Turyamuhwezi ategeezezza CBS nti emisango gweyali yawawabira Gen Jim Muhwezi munnakibiina ki NRM, yagyesonyiye olw’obukosefu bwalina obutajjakumusobozesa kumalako na leebuleebu wa kooti.
Buli luvanyuma lwokulonda, bannabyabufuzi bangi ababa tebamatidde nebivudde mu kulonda, baddukira mu mbuga z’amateeka okuwawabira abo ababa bawangudde wabula bangi kwaabo ababa tebawangudde misango egyo, bakomekereza bagudde mu mabanja agatagambika.
Bangi bakomekereza batuunze eby’obugagga byaabwe nebafuuka baavu mponga byooya olw’engassi ebabinikibwa okuliyirira abantu ababa bawangudde emisango egyo.#













