Police ye Kanoni mu gombolola ye Butenga mu district ye Bumomansimbi ekutte abantu 4 nebaggalira, kigambibwa bekobaana nebatemaatema omuwala Christine Nannozi eyali akyali Nakawere nebamubbako omwana we.
Kigambibwa nti oluvannyuma lw’okumutema baalowooza nti afudde, olwo nebalyoka bamubbako ebbuggye eryali ery’omwezi gumu ogw’obukulu.
Abakwate 4 bonna bafumbo, nga ababiri ye muwala eyalimba nti azaalidde bba omwana kumbe omwana mubbe,kwosa bba, awamu n’abafumbo abalala, Nannozi weyatuukira ng’aggyiddwa ewabwe e Kalungu nebamutwala e Bukomansimbi gyebaamutemera.
Okukwatibwa kivudde ku Nannozi Christine okukuba ku matu mu ddwaliro ekkulu e Mulago gy’amaze omwezi mulamba, olwo nattottola nti abamutusaako obulabe abamanyi era amanyi gyebabeera.
Ab’oluganda lwe basitukiddemu nebatemya ku police neekwata omu kwomu.
Basoose kuteekebwa ku police e Kanoni, kyoka nebagyibwawo ng’abatuuze bagala kubagajambula, nebatwalibwa ku CPS Bumomansimbi gyebagenda nayo okugyibwa batwalibwe e Masaka bavunaanibwe.
Bisakiddwa: Mubarak Ssebuufu Junior











