Omutaka Kabazzi Omubbulukuse Buyondo Ceaser Miti alagiddwa eri Abazzukulu, nga yazze mu bigere bya kitaawe Omutaka Kabazzi David Ssempuuma Marvin Miti eyaseeredde nga 02 June,2026.
Omutaka omubbulukuse Kabazzi Buyondo Ceaser Miti, Muyizi mu ssomero lya King’s College Budo era nga ali mu Senior eyookubiri.
Bwabadde alangirira Omutaka omubbulukuse mu Bulange e Mengo, Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza abazzukulu olwÉnkolagana ennungi eyoleseddwa, oluvannyuma lwÁmasiga 14 gonna okukkiriziganya ku nsonga eno.

Katikkiro mu ngeri eyenjawulo agambye nti ekika kyÁkasimba kibadde kya kulabirako mu ngeri yÓkulonda Kabazzi Omubbulukuse, era nga kikoze ky’amaanyi okunyweza Amasiga Buganda kwetudde.
Asabye Omutaka Kabazzi Buyondo Ceaser naye okukumakuuma abazzukulu n’okumanya nti Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabataka.
Katikkiro w’Ekika ky’Ennyonyi Ennyange Lutuuma Fenekansi Kato, nga yoomu betabye mu kuzuula Kabazzi Omubbulukuse, agambye nti buli kibadde kirina okugobererwa kigobereddwa.
Katikkiro wÁkasimba Edward Brown Lwanga ,y’ayanjulidde Kamalabyonna wa Buganda, Kabazzi Omubbulukuse.
Kabazzi Omubbulukuse Miti Ceaser Buyondo yebazizza omukama olwÓbuweereza bwa Kitaawe kati omubuze, abadde empagi luwaga mu kukumakuuma abazzukulu.

Omutaka Kabazzi Omubuze waakuterekebwa enkya nga 05 Muzigo,2026 e Kyango Mawokota.
Bisakiddwa: Kato Denis













