Omubaka wa Paapa eyawummula Nunciyo Augustine Kasujja yekokodde ebikolwa ebitali bya bwakatonda ebibuutikidde eggwanga lyaffe, omuli obubbi, obuli bw’enguzi, ekibba ttaka, Obutemu, obulyake n`obulabbayi era nasaba bannauganda okwegayirira Katonda okuyita bajulizi abitutaseeko.
Nunciyo Augustine Kasujja abadde
akulembeddemu ekimu ku bitambiro bya Mmisa ebiyimbiddwa ku kiggwa ky’abajulizi abakatoliki ekye Namugongo, okukuuza olunaku lw’aajuliizi olukwatiddwa mungeri eyekinascience.
Olunaku lw’abajulizi lukuzibwa buli nga 03 June,2026 ng’abakkiriza balamaga okuva mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’amawanga amalala, wabula ku mulundi guno tekisobose olw’okwerinda ekirwadde kya Ebola.
Nunciyo Augustine Kasujja era ategezeeza nti singa twegayiriira bulungi abajulizi baffe, bayinza okutusasiira nebatukuza ekifananyi kya Uganda ne Africa yonna okutwaliza awamu.
Ebitambiro bya Missa byatereddwawo 5 nga bitegekeddwa munda mu lutikko ya Basilica e Namugongo.
Buli kitambiro kya missa nga kyetabibwamu abantu abatasukka 400, ate nga buli kitambiro nga tekinayimbibwa Basirica yonna ebadde esooka kufuuyirwa Sanitaizer nebyuma eby`omulembe.
Buli muntu abadde ayingira mu lutikko abadde asooka kwekebegyebwa nnyo, okutekebwako akuuma akapima ebbugumu, okumufuyiira Sanitizer mu ngalo, era abakuuma ddembe babadde tebakkiriza bantu basukka mu omu kuyimirira mu kifo kimu nga tebewadde mabanga.
Bisakiddwa: Musisi John













