Ekitongole ky’ebyemisolo ekya Uganda Wildlife Authority ne police bitandise okunoonyereza ku kabenje akafiiriddemu abantu 3, mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison National Park, ku luguudo oluva e Ggulu okudda e Kiryandongo okumpi n’olutiindo lw’e Kaluma.
Abafudde babadde batambulira mu motoka kika kya Drone No. UA 2012AA, nga kigambibwa nti etomedde enjovu neegwa, ate emmotoka n’ewaba neeva ku kkubo, olwo enjovu oluyimuseewo neerumba emmotoka gyebadde negikubaakuba, 3 bafiiriddewo.
Kitegerekese nti mu bafudde mubaddemu abadde omukozi wa URA Robert Wamala Lumanyika abadde omusomesa w’ebyemisolo, omusomesa wa Mengo SS Lubega Andrew n’omulala atanategerekeka mannya.
Kigambibwa nti abantu 4 bavuddewo ne bisago eby’amaanyi era ne baddusibwa mu ddwaliro lya Kiryandongo okufuna obujjanjjabi obusookerwako.
Omwogezi we Kitongole kye bisolo ekya Uganda Wild life Authority Bashir Hangi mukwogerako ne CBS enkya ya leero agambye nti bakyetegereza ebyabaddewo, era asabye abantu abatambulira ku nguudo eziri mu malundiro g’ebisolo okutasukka misinde gya kilometres meters 40 nga bavuga.#













