Government ya Uganda mu butongole eyanjulidde parliament ebbago ly’etteeka erirambika bannansi okubeera n’omwoyo ogwagala ensi yabwe, okwewala okwenyigira mu bikolwa ebitumbula ebigendererwa by’abagwira, n’okuttattana obwetengereze bw’eggwanga Uganda.
Etteeka lino, government yalituumye the Protection of Sovereignity Bill 2026, ligendereddwamu okulambika n’okulondoola ensimbi zonna eziyingira eggwanga okuva mu bagwira, okulaba nti tezigenda mu kuvugirira ebikolwa ebitaataaganya obwetengereze bw’eggwanga Uganda.
Government egamba nti egenderera okunyweza obwetengereze bw’eggwanga Uganda okulaba nti tebusekeetererwa bagwira olw’okutuukiriza ebigendererwa byabwe
Mu mbeera eno, ensimbi zonna eziva mu bagwiira okuyita mu bitongole byobwannakyeewa, abantu kinnoomu abayitiddwa ba ‘agents’ babagwira, government eyagala ezirondoole nnusu ku nnusu, gyeziva, gyeziyita nekyezigenda okukola.
Mu tteeka lino lyerimu, government eyagala okuyita mu kitongole ky’ebyokwerinda n’obutebenkevu bw’eggwanga, etandike era ewe certificate ba agent babagwiira.
Certificate zino zakulambika ebigendererwa byabwe n’okulondoola emirimu gyebaakola okulaba nti tebasekeeterera bwetengereze bwa Uganda.
Ebbago lino lyanjuddwa mu parliament minister omubeezi ow’ensonga zomunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi.
Sipiika Anita Annet Among alisindise eri obukiiko bwa parliament okuli akalondoola ensonga zomunda mu ggwanga n’ebyokwerrinda saako akakiiko k’amateeka bulyetegereze.
Ebibonerezo;
Ebbago ly’etteeka lino lirambika nti omuntu kinoomu anaatumbula enteekateeka zabagwiira ezittattana n’okukosa obwetengereze bw’eggwanga Uganda wakusibwa emyaka 20 oba okutanzibwa obuwumbi bwa shs 2 (shs 2 billions)
Ate bwekiba kitongole nga kyekyenyigidde ku bumenyi bw’amateeka buno, kyakutanzibwa obuwumbi bwa shs 4.
Okuwandiika n’okusaasaanya amawulire amakyamu oba agoobulumba ku ggwanga Uganda oba ku government, okubaga n’okussa mu nkola enteekateeka ezirina okukolebwa government ng’omuntu oyo oba ekitongole tekifunye lukusa okuva eri government, byonna government eyagala bifuuke misango egiriko ebibonerezo ebikakali
Omuntu akozesebwa abagwira okutaataaganya eby’okulonda by’eggwanga ebyawukana n’okusalawo kwa bannansi wakusibwa emyaka 20 oba okutanzibwa obuwumbi bwa shs 2.
Songa bwekiba kitongole nga kyekyenyigidde mu kumenya ennyingo eyo kyakutanzibwa obuwumbi bwa shs 4.
Okwenyigira mu nteekateeka ezikottogera ebyenfuna by’eggwanga ekiyitiddwa economic sabotage, government kati egufudde musango, era omuntu anaabyenyigiramu wakusibwa emyaka 20 oba okutanzibwa obuwumbi bwa shs 2, songa bwekiba kitongole nakyo kyakutanzibwa obuwumbi 4.
Bannansi abagala okukola omulimu gwaba agents babagwiira, government yakubawandiisa era ebawe certificates ezirambulula emirimu gyabwe n’emisoso emirala.
Ng’abanaakola obwa agents bwabagwira okutaataaganya obwetengereze bwa Uganda, obutaba na certificate oba olukusa, bakutanzibwa engasi ya kawumbi ka shs kalamba oba okusibwa emyaka 10 oba ebibonerezo byombi.
Ensimbi eziyingira eggwanga nga zifunibwa abantu kinoomu oba ekitongole okukola emirimu gyabagwira nazo ziteekeddwako ekkomo.
Ensimbi ezo eziweerezebwa tezirina kusukka obukadde bwa shs 400 mu mwaka, okugyako ng’ofunye olukusa okuva eri minister w’ensonga zomunda mu ggwanga.
Okufuna ensimbi ezisukka obukadde 400 mu bbanga ery’omwaka nga tofunye lukusa okuva eri minister, ekibonerezo kyakusibwa emyaka 20 oba okutanzibwa obuwumbi bwa shs 2, songa bwekiba kitongole nga kyekimenye etteeka lino kyakutanzibwa obuwumbi 4

Abagwira be bano aboogerwako mu tteeka;
Mu bbago ly’etteeka lino, government ennyonyodde abagwira kyekitegeeza okuli; —-Bannauganda abawangaalira ebweru wa Uganda
-Abantu abatali bannauganda
-Amawanga amalala
-Ebitongole by’ebweru wa Uganda
-Amakampuuni g’ebweru wa Uganda
-Ebitebe by’amawanga amalala
Bano bonna bakwatibwa etteeka lino era bwebalimenya ebibonerezo ebyo bibalindiridde.#












